Psalms 48

Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1 a Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

2 bSayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
ekibuga kya Kabaka Omukulu;
3 cKatonda mw’abeera;
yeeraze okuba ekigo kye.

4 dKale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
ne bakyolekera bakirumbe;
5 ebwe baakituukako ne bakyewuunya,
ne batya nnyo ne badduka;
6nga bakankana,
ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
7 fWabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.

8 gEbyo bye twawuliranga obuwulizi,
kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
mu kibuga kya Katonda waffe,
kyalinywereza ddala emirembe gyonna.

9 hAyi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 iErinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 jSanyuka gwe Sayuuni,
musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
kubanga Katonda alamula bya nsonga.

12Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
mubale n’ebigo byakyo.
13 kMwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.

14 lKubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.
Copyright information for LugEEEE